Ekigendererwa kyaffe
Yesu Kristo obutuukirivu bwaffe Tuli ababuulizi b' enjiri abakola omulimu gw' obwanakyeewa, abakkiriza okukowoola kwa Yesu olw' okufuulibwa ababuulizi b' enjiri mu mawanga gonna (Matayo 28:16-20); na ddala mu naku zino eziseembayo ebyafaayo by' ensi eno ejjudde okutabukatabuka mu mitendera gyonna egy' obulamu, n' okuggwaamu essuubi mu by' omuwendo byonna abantu byebenyumirizamu; abato n'abakulu, abagagga n'abaavu ab'eddembe n'abaddu. Mu Yesu mwokka ye olwaazi olw'emirembe gyonna, mwetuyinza okuzimba obulamu nga tulina essuubi erya leero era n'ery'mirembe gyonna. Tukkiriza nti Yesu Kristo akomawo mangu ddala alokole abo bonna abaamukkiriza, era ateeke ekkomo ku kibi n'abonoonyi abaakyesibako, Setaani ne ba Dayimoni awamu n'okufa bigibweewo. ye nsonga lwaki tukuyita nti wenenye.
11: “Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby'okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu, eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye."
"Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo.Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza.”
"Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga:n'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo.Awo we wali okugumiikiriza kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu.Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw'ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.” ”
YesuKristo obutuukirivu bwaffe
“Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mirembe: era lino lye linnya ye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe” Yeremiya 23:6
19th of June - Church Sermons
Donec orci lectus, aliquam ut, faucibus non, euismod id, nulla. Fusce fermentum odio nec arcu integer tincidunt cras ultricies sem orci lectus, aliquam ut, faucibus non, aliquam ut.
1rd of September - Ministries
Cras ultricies sem orci lectus, aliquam ut, faucibus non, aliquam ut onec orci lectus, aliquam ut, faucibus non, euismod id, nulla. Fusce fermentum odio nec arcu integer tincidunt.